Ab’obuyinza mu ggwanga bawaliriziddwa okuggala ensalo za Uganda ne Democratic Republic of Congo, okutangira okusaasaana kw’obulwadde bwa Ebola.
Okusinziira ku bakungu mu minisitule y’ebyobulamu obuyambi ng’emmere, eby’amaguzi saako n’abakola ku gw’okulwanyisa ekirwadde ki Ebola bbo baakukkirizibwa okuyingira eggwanga.
Bbo abantu abava e Congo okuyingira eggwanga baakusooka kwekebejjebwa n’okweyawula okumala ennaku 21.
Credit: Source link